2 Timothy 4

1 aNkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, 2 bbuuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. 3 cKubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. 4Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. 5 dNaye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.

6 eNze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. 7 fNnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 8 gKye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.

9Fuba okujja amangu gye ndi. 10 hKubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. 11 iLukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza. 12 jTukiko n’amutuma mu Efeso. 13Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.

14 kAlegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye. 15Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. 16 lMu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 17 mKyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 18 nEra Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.

Okulamusa n’Omukisa

19 oNnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.

20 pErasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde. 21Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka.

Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.

22 qMukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

Copyright information for LugEEEE